Abakozi. Omukozi ye muntu akola omulimu ogw’engeri yonna ogw’enkalakkalira.Abakozi okufuna nnamba z’omusolo (TIN) nga tebannateekebwa ku lukalala lw’abo abasasula omusolo ogwa ‘sasula nga bw’ofuna’ (PAYE), balina okuba n’ekimu ku biwandiiko bino ebisookerwako:• Densite y’omulimu• Ebbaluwa entongole ey’omulimu oba ekakasa omuntu ku mulimu n’ekirala eky’engeri eyo.• Siteetimenti ya akawunti ya bbanka eraga omusaala nti gusasulwayo.Wabula, omukozi atalina bbaluwa emutongoza ku mulimu wadde densite y’omulimu era nga tali ku lukalala olulaga ensasula y’omusaala olw’ensonga nti yaakaweebwa omulimu ogwo, ajjanga kuwaayo endagamuntu (densite y’eggwanga) ssaako oba ebbaluwa okuva mu bakama be eraga nti mukozi waabwe.